Romans 16

Okulamusa

1 aKaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa
Foyibe yali mudiikoni mu kkanisa eyo
ey’omu Kenkereya.
2 cMumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.

3 dMundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, 4abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.

5 eMutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.

Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.

6Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.

7 fMundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.

8Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.

9 gMundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.

10Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.

Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo.

11 hMundabire Kerodiyoni muganda wange.

Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso.

12Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.

Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.

13Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.

14Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo.

15 iMundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo.

16 jMulamusagane n’okunywegera okutukuvu.

Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.

Ebisembayo

17 kNoolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 18 lKubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 19 mKubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.

20 nKaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu.

Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.

21 oTimoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.

22Nange Terutiyo
Terutiyo ye yakubanga tayipu nga Pawulo awandiika ebbaluwa ze
awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.

23 qGaayo
Gaayo yandiba Gaayo ow’omu 1Ko 1:14, Pawulo gwe yabatiza
ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.

24Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.

Pawulo abasiibula n’okusaba

25 sKaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 27 tKatonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.

Copyright information for LugEEEE